Eggulu I: Heaven I (Luganda)
Autor: | Lee, Jaerock |
---|---|
EAN: | 9791126302383 |
Sachgruppe: | Belletristik |
Sprache: | metaCatalog.groups.language.options.ganda |
Seitenzahl: | 254 |
Produktart: | Kartoniert / Broschiert |
Veröffentlichungsdatum: | 22.03.2018 |
Schlagworte: | Fiction - Religious |
14,00 €*
Die Verfügbarkeit wird nach ihrer Bestellung bei uns geprüft.
Bücher sind in der Regel innerhalb von 1-2 Werktagen abholbereit.
Katonda kwagala takoma ku kukulembera buli mukkiriza eri ekkubo ly'obulokozi wabula n'okumubikkulira ebyama bye ggulu. Wakiri omulundi gumu mu bulamu bw'omuntu, abaako n'ebibuuzo nga bino "Ndaga wa, oluvannyuma lw'obulamu mu nsi eno" oba "Ddala eggulu ne ggeyeena gye biri?" Abantu bangi bafa nga tebannafuna by'akuddibwamu eri ebibuuzo nga bino, oba ne bwe baba bakkiririza mu bulamu oluvanyuma lw'okufa, si buli muntu agenda mu ggulu kubanga si buli muntu nti alina by'amaanyi ebituufu. Eggulu ne ggeyeena si bintu bya ku kukuba bukubi bufaananyi, wabula bintu ebiriyo ddala mu nsi ey'omwoyo.Ku ludda olumu, Eggulu kifo kirungi nnyo ky'otayinza kugeerageranya na kintu kyonna mu nsi. Nnasaba era n'ensiiba obutalekayo okumala emyaka musanvu okusobola okumanya ebikwata ku ggulu era n'entandika okufuna okuddibwamu okuva eri Katonda. Kati Katonda Andaga bingi ku byama by'omu nsi ey'omwoyo mu buziba bwabyo. Kubanga eggulu terisobola kulabibwa, kizibu nnyo okunyonyola eggulu n'olulimi saako amagezi g'ensi eno. Wayinza n'okubaawo okulitegeera obubi. Ye nsonga lwaki omutume Paulo teyasobola kwogera ku nsi ensuubize ey'omuggulu ery'okusatu mu bujjuvu gye yali alabye mu kwolesebwa. Katonda era yansomesa ebyama bingi ku ggulu, era okumala emyezi mingi n'abuulira ku bulamu obujjudde essanyu n'ebifo eby'enjawulo eby'okubeeramu mu ggulu, n'empeera ez'enjawulo mu ggulu okusinziira ku kigero ky'okukkkiriza kw'omuntu. Wabula nali sisobola kubuulira ebyo byonna bye nali njize mu bujjuvu. Ensonga lwaki Katonda Ang'anya okwasanguza ebyama eby'ensi ey'owomwoyo, bissobole okumanyibwa abantu okuyita mu kitabo kino, kwe kulokola emyoyo egiwera nga bwe kisoboka era gisobole okugenda mu ggulu, eryo eritangalijja ng'ejjinja ery'omuwendo omungi ennyo.